News
Bakyewagula ba NRM bakirizidwa okwetaba mu tabamiruka
Kyadaaki ababaka ba National Resistance Movement (NRM) abawakannya eky’okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga bakirizidwa okwetaba mu ttabamiruka w’ekibiina.
Ekiwandiiko ekitekedwaako omukono avunanyizibwa kumateeka mukibiina Oscar John Kihika, kilambikidwa nti banno bakyaali bakiise mu NRM okusinzira ku kawayilo 11(2) (i) musemateeka afuga ekibiina ela nga tebayinza kulekebwa tale okuvva lwekiri nti tebagobwanga mu NRM.
Kinajukirwa nti olunaku lwegulo Ssabawandiisi w’ekibiina kinno Justine Kasule Lumumba yavudeyo nakawangaamula nti buli mubaka eyavugannya ku kaadi y’ekibiina natawagila kujja kkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga ssi wakukilizibwa kwetaba mu tabamiruka wakibiina.
Okusinzira ku Lumumba, kunno kwabadde kulagira kwa Ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni obutetaba mu tabamiruka ono okutuusa ng’akakiiko akakwasisa empiisa mukibiina katunudde munsonga zaabwe.
Tabamiruka w’ekibiina wakutuula sabiiti ejja wakati w’ennaku z’omwezi 23 ne 25 mu kisaawe e Namboole. Omusasi waffe akitegeddeko nti ezimu ku nsonga enkulu kwe kulonda anakwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa pulezidenti mu 2021.
Ngojjeeko ekyo, abakiise bagenda kukola enongosereza mu semmateeka afuga akamyufu k’ekibiina jekalondebwaamu kafuuke akokusimba ku mugongo.
Kinajukirwa nti ababaka ba NRM abasoba mu kumi tebawagira kyakujja kkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga wadde nga banakibiina abasinga nga bakulembedwamu pulezidenti Museveni bawagira okukyusa akawayiro 102(b) mu mwakka gwa 2017.
Abamu ku babaka banno abayimirila ku magulu gabwe abiiri nebawakannya kinno kuliko Patrick Nsamba, Sam Lyomoki ,John Baptist Nambeshe, Monica Amoding, Theodore Ssekikubo, Gaffa Mbwatekamwa, Barnabas Tinkasimire, Saran Nakawunde, Maurice Henry Kibalya, Silvia Akello, Felix Okot Ogong kwosa n’omubaka wa Mukono ey’omaserengeeta Johnson Muyanja Ssenyonga.