Connect with us
Ministry of health

Kusasira ne Butcherman bandiba nga bakola ja bwanakyeewa

Gossip

Kusasira ne Butcherman bandiba nga bakola ja bwanakyeewa

Buchaman

Pulezidenti Museveni bweyali E Katwe ku mukolo ogumu mu mwezi gwe kumi omwakka oguwedde, bwatyo yavaayo nalangilira omuyimbi Catherine Kusasira  kwosa ne Mark Bugembe amannyidwa ennyo nga Butcherman okubeera abawabuzi be ku nsonga za Kampala n’abavubuka.

Wabula kyeyolesse nga banno abakola omulimu gw’obwanakyeewa oluvannyuma lw’avunanyizibwa ku byensimbi mu makka g’omukulembeeze w’eggwanga Lucy Nakyobe okukawangamula nga banno bwatabamannyi nga bawabuzi bamukulembeeze wa gwangga nga kinno kitegeeza tebatekedwa funna musaala.

Kusasira starts cosmetics business

Catherine Kusasira.

Bweyabadde alabiseeko eli akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku Nsonga z’obwapuluzidenti, Nakyobe yategezezza banamawulire nti banno tafunangaako baluwa zibakakasa kubeela bawabuzi ba pulezidenti nga kinno kyokka kyekibakakasa okubeela abakozi mu makka g’omukulembeeze.

“Saliyo nga balondebwa, naye nange nabiwulira buwulizi ela kyalinda pulezindenti  ye kennyini akitekke mubuwandiike olwo tulyoke tugobelere emitendela ejibakakasa,naye mu budde bunno tebatekedwa funna musaala,” Nakyobe bweyategezeza.

Wabula Nakyobe agamba nti ye amannyi Jennifer Nakangubi amannyidwa nga Full-Figure yekka nga omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za bayimbi N’abavubuka.

Comments

comments

Continue Reading
Advertisement

More in Gossip

Advertisement

Columnists

solar

Advertisement
To Top